Job 32

Eriku Ayogera

1 aAwo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. 2 bNaye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. 3Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. 4Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. 5Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.

6 cAwo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti,

“Nze ndi muto mu myaka,
mmwe muli bakulu,
kyenavudde ntya
okubabuulira kye ndowooza.
7Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera,
n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.
8 dKyokka omwoyo oguli mu muntu,
nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
9 eAbakadde si be bokka abalina amagezi,
wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.

10“Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize,
nange mbabuulire kye mmanyi.
11Nassizzaayo omwoyo nga mwogera,
nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.
12Nabawulirizza bulungi.
Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu;
tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.
13 fMwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi;
muleke Katonda amuwangule so si bantu.’
14Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze,
era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.

15“Basobeddwa, tebalina kya kwogera,
ebigambo bibaweddeko.
16Kaakano nsirike busirisi,
nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?
17Nange nnina eky’okwogera,
era nnaayogera kye mmanyi,
18kubanga nzijjudde ebigambo,
era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.
19Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa,
ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
20Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe,
nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.
21 gSijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi,
era sijja na kuwaana muntu yenna.
22Kubanga singa mpaaniriza,
Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”
Copyright information for LugEEEE